Eteeka ku kulaga eby'obubi mu kibiina
1. Amakulu ge teeka lino Enkola y’okufuuwa firimbi ngolaga ebikyaamu mu Kitongole
Ekitongole kya Hanns R. Neumann Stiftung (HRNS) kisuubira buli mukozi akola nakyo okugoberera enkola enungamu ey’amazima n’obweruufu munkola y’emirimu. Omulamwa omukulu ogwe enkola eno ey’okuloopa ebisobye kwe kuwa amaanyi abakozi, abanywanyi, abafuna mu nkola zaakyo nabalala bonna abakwatibwako ensonga okuloopa ebyo byonna ebitatambula bulungi oba ebitakkirizibwa, awatali kutya muntu yenna nti ajja kumwesasuza nga aloopye.
2. Abakwatibwako
Abakwatibwako enkola eno, be bakozi be kitongole, abo abaweereddwa endagaano okukola emirimu gyekitongole, abanywanyi, abakugu, abazze okuyiga, banakyeewa, nabo bonna abakolagana obuterevu ne HRNS mungeri endala zonna.
Era Enkola eno ekwaata n’ekwaabo abali wansi w’ekitongole naabo abekuusa ku kitongole. Wabula bano basobola okugoberera enkola zaabwe z’ebalina kasita baba nga bagoberera enkola ya HRNS nga essengejjero erisembayo.
3. Enkola y’okufuuwa ffirimbi ngolaga ekikyaamu yeriwa?
Okuloopa okwekyaama kitegeeza okuloopa oba okuwaawabira ebyo ebikolebwa nga tebigoberera nkola z’akitongole ezimanyiddwa, okuyisa amaaso mu nkola enungamu ezatekebwawo ekitongole, okumenya ennono zekitongole oba okulemererwa okukola ebyo ebiri mu mateeka ekitongole kwekitambulira, era nga bino byebimu ku byo;
- Okukola ebyo ebimenya amateeka (okufera/okulya enguzi)
- Okuyisa amaaso mu mateeka agatambulirwako emirimu mu kitongole
- Okukola ebiteeka obulamu bwabakozi nabantu abalala mu katyabaga
- Okwonoona obutonde
- Okukozesa obubi ebintu byekitongole
- Okusosola, okukabasanya n’okutulugunya
4. Engeri gyoyinza okuwaaba
Ensonga zonna zilina okuwawabirwa mu bwangu obw’ekitalo mungeri zino wamanga:
- Okuwerereza ku mukutu gwa HRNS ne foormu ya alipoota: Alipoota ez’okuwaayo nga oyingidde ku mukutu gwa HRNS ne foormu eyo zijjulirwa ku Compliance Officer wa HRNS oba ku muntu ow’ebweru omubaka w’abantu, okusinziira ku gw’oyagala okuwaayo alipoota. Alipoota zisobola okuweebwa ng’osiimye okuyingiza erinnya lyo oba eby’okukwatibwako, naye osobola n’okuzissa nga tolagiddwa (anonymous).
- Nga okwatagana n’omuntu yenna ali wabweru w’ekitongole naye nga amannyi kunkola z’ekitongole.
Dr. Philipp Engelhoven
E-Mail: whistleblower.hrns@esche.de
Address: Am Sandtorkai 44, 20457 Hamburg, Germany
Phone: +49 40 36805 119 - Osobola okuwandiika obubaka n’obuyisa ku mpuliziganya eno:
complianceoffice@hrnstiftung.org - Bwooba nga ensonga yo ekwata ku mukwanaganya omukulu mu kitongole, wandiikira oyo anonyereza ngasinziira Wabweru wa kitongole oba ssenkulu we Kitongole ekya HRNS ku ndagiriro eno:
Managing Director Jens Sorgenfrei
E-Mail: managing.director@hrnstiftung.org
Address: Hanns R. Neumann Stiftung, Am Sandtorpark 4, 20457 Hamburg, Germany
Phone: +49 40 808112 406
Okwongerako; abo bonna abaloopa ensonga zaabwe ba ddembe okutuukirira wofiisi za gavumenti eziri ebweru w’ekitongole. Oyo yenna aloopa ensonga ye wa ddembe okukozesa wofiisi yonna emwanguyidde. Mu mbeera nga emitendera egyenjawulo girina okugobererwa okusinziira etteeka erimenyedwa naddala nga aloopa talina kutya, Enkola ey’okuloopa ensonga mu wofiisi zekitongole ezomunda yandyetaniddwa nnyo.
5. Okukuuma ekyaama/okusigala nga toyagadde kumanyibwa
Ensonga zonna eziloopeddwa zitwalibwa okuba ezekyaama. Abo abawaaba basobola okusigala nga tebayogedde mannya gaabwe nabibakwatako newankubadde nga kino kiyinza okugootaanya omulimu gw’okunonyereeza kunsonga elopeedwa.
Okutwala ensonga yo eri omukulu akwasaganya ebirina okukolebwa, ensonga osobola okugiteeka ku mwaliiro oba ekibanja kya HRNS ngokozesa foomu eloopa era osobola okuleka amabanga ng’ojjuza katugeze nga erinnya, ekibanja kyo ekyomuntu, oba okukozesa mail ezitagobererwa oba ezitamanyidwa
Ate gwe ayagala okukozesa woffiisi oba emikutu egiri ebweru w’ekitongole oba omukulu akwatibwako ebirina okukolebwa osobola okuyita kukibanja kyo ekyomuntu mulala oba ekibanja ezitamanyidwa, era osobola okusaba okusigala nga osigadde oli wa kyaama naye nga oleseewo omuwaatwa ogwokwogerezeganya nawe. Era oyo gwotwalidde ensonga yo ajja kukikuuma nga kya kyaama nga bwonaaba osabye.
6. Engeri ensonga eziloopeddwa gyezikwatibwaamu
Buli nsonga eloopedwwa ejja kwekenenyezebwa era otegezeebwe nti ensonga yo etuuse mu nnaku ttaano zokka ezookukola okuva ewooyo yenna ensonga yo gyewagitwala, naye kino kijja kukolebwa singa oyo yenna aloopye ensonga ye alekawo omwagaanya okumuddiza obubaka ku kibanja kye.
Ensonga zonna zijja kutwaliwa nga nkulu nnyo era zijja kunonyerezebwaako, era zijja kwatibwa kannabwala nga ebinaava kunonyereza bwebinabeera.
7. Okutangira okwesasuliza kwooyo afuuye ffirimbi ngalaga ekikyaamu
Ekitongole kya HRNS kigaana omuntu yenna okwesasuliza kwooyo afuuye firimbi ngalaga ekikyaamu bwaaba kino akikoze mu bwesimbu. Era singa wabaawo ekikolebwa kwooyo aloopye mu ngeri y’okumwesasulizaako, ekikolwa ekyo kijja kutwalibwa nga kya kivve era akikoze ajja kutwalibwa eri akakiiko akakwasisa empisa era kiyinza n’okuvaako oyo akikoze okugobwa ku mulimu ne ndagaano ye nesazibwamu.
8. Okunoonyereza
Ensonga zonna zijja kukwatibwako ka nabwala, era zijja kunonyerezebwaako mu bujjuvu bwazo eri omukulu yenna gwezinaatukirako. (Akwasaganya ebitekebwa mu nkola, anonyereza owa Wabweru oba ssenkulu we kitongole). Oyo afuuye firimbi ayinza okubuuzibwa ebibuuzo mu kaseera kokunonnyereza singa aba aleseewo endagiriro ye.
Singa ensonga eloopebwa ekwata buteerervu kwooyo akwasaganya ebikolebwa, awo no buvunanyizibwa gw’okunonyereeza bwonna bujja kukolebwa butereevu senkulu we kitongole kya HRNS oba anoonyereza nga ali bweru wa kitongole. Mu mbeera bwetyo, omukulu akwasaganya ebikolebwa ajja kuba talina kakwate konna mu kunonyereza kuno. Obukulembeze buyinza okusalawo okukozesa omuntu/ekitongole okuva wabweeru wa HRNS okusobola okufuna okunonyereza okutaliimu kyekubiira.
9. Okukuuma Ebiwandiiko
Ekitongole kye HRNS kijja kukuuma ebivudde mu kunoonyereza okumala emyaka kkumi.
10. Okwekenneenya Enkola eno
Enkola eno ejja kwekenenyezebwanga obudde bwonna era wajja kubaawo okwongeramu ennongosereza ezigoberera amateeka.
11. Endagiriro
Compliance Officer: Marion Schenk
Email: complianceoffice@hrnstiftung.org
Phone: +49-40-808112 419
Address: Am Sandtorpark 4, 20457 Hamburg, Germany
Hanns R. Neumann Stiftung, July 2025