Whistleblowing

Okwemulugunya kubitagenda bulungi nokweyinsa mungeri etali nungamu

Farmers picking coffee berries

Obwerufu, empisa awamu nobuvunanyizibwa bwabuli muntu yenamuziga era empagi ezesigamwako ngatutusa obuwereza obwenjawulo /okukola emirimu mukitongole kya Hanns R. Neumann Stiftung (HRNS), mukowe lyerimu tukukubiriza okukozesa obwerufu, Amazima awamu nokusa ekitibwa mubantu banaffe naddala nga twogerezeganya. Tuli betefutefu okuwuliriza awamunokugonjola/Okukola kukwemulugunya kwona okutuka ku mezza yaffee kabuna kubera nga kwesigamizidwa kumazima.

Mumbera ezimu singa okwogera mulwatu kikalubiriza oyo eyemulugunya oba awaaba, oba omuwabi atya okumumanya nti yeyalopye, tukubiriza omuntu oyo okutusa okwemulugunya kwe nga akozesa kumukutu gwaffee ogwemulunyizibwamu oba okulopelwa ensonga zona ezitagenda bulungi, nga empisa embi, okukola ebyobyon’awamu nebyona ebitatambula bulungi ngatwesigama nambika yaffe eyokulopa.

Amawulire oba okulopa kusobola okukolebwa kubino wamanga:- Eneyisa etali yabuntu bulamu, ebikolwa ebyobumenyi bwamatekka, embera zona ezisa obulamu bwabantu mumatiga, ebikolwa ebityobola obutonde bwesi, obukumpaya okusososla okwengeri yona, okukulusanya awamu nebikolwa ebyafujjo eri omuntu.

Osobola okulopa ebikolwa ebyo nga bikoledwa omukozi wekitongole kya HRNS, banamukago bakyo, abakugu abapangisibwa okukola emirimu egyenjawulo, abawereza kulwa HRNS awamu nabantu sekinomu oba ebitongole ebikolagana ne HRNS.

Okuwaba oba okwemulugunya kwona osobola okuyisa ku mikutu gino wamanga, (1) HRNSwebsite reporting form (ng’ekiwereddwa ku Mukugu waffe ku Nteekateeka oba ku muntu ow’ebweru omubaka w’abantu) (2) kukubira obuterevu kalisoliso waffe Dr. Philipp Engelhoven (whistleblower.hrns@esche.de, Tel. +49 40 36805 119); or (3) oba okusindika obubaka obuwandiike ku complianceoffice@hrnstiftung.org. Bw’oba olina okweraliikirira ku nsonga erina akakwateko Compliance Officer, kale osobola okutuukirira omuntu omutongole ow’obufuzi (ombudsperson) oba Managing Director waffe Jens Sorgenfrei (managing.director@hrnstiftung.org, Tel. +49 40 808112 406). Osobola era n’okukwata ku bitongole bya gavumenti ebikwata ku kuwandiisa obujulizi.

Okwemulugunya kwona kujja kukolebwako mubwanguddala, era nobuvunayizibwa awamu nokukwatibwa mugeri ya twekisize. Okukwemulunyanya kwona okukolebwa abntu atayagadde Kumanyika, nabwo bukwatibwa munkola yemu nga obumanyikidwa ko oyo awabbba oba gyebuvva. Osobola okusigala nga tomanyikidwa ngo waaba erinya ne namba yesimu ngojuza kulupaala oluli ku website yaffee bireke ngabikalu oba ngokozesa ekola eyesimu nobubakka obuwandiike obutaleka bulambe bwona. Bwowayo amawulire gonna, ebikukwatako nebyo byowandiiseko tubikunganya nga twesigama kumateka gaffe agafuga obwekusifuu.

Tusubbizza okukuma abo bona abatuwa obubakka bwokwemulugunya nga tebatusidwako bulabe bwona, era singa kimanyibwa nti omutu eyawabye yatusidwako obulabe bwonaoyo yenna akikoze aja kutwalibwa mukakiko akakwasisa empisa oba nokusazamu endagano yobukozi oba enkolagana nekitongole.

Okuwaba oba okwemulugunya kituyamba okuvumbula enkola zona ezitali nungamu era nokutangira ebikosa enkola yemirimu ekinyweza obuntu bulamu. Tubebaza olwokuyamba mu kukwasisa ennono zaffee ezekitongole.

Byoyagala okuwa amawulire ngoyiita kumutimbagano, soka olondeko nti obubaka obusindika ku HRNS Compliance Officer oba kukalisoliso waffe owebweru. Okussa obubakka kumutimbagano goberera endagiriro ekuweredwa mukiwandiiko kyoli mukujjuza.

Wabba okwekengera kwona kwolina

Enkulu ya fayiro: 5 GB ku buli fayiro

Ssuula fayiro zo wano oba nyiga okuzilonda.

*ebitundu ebya wansi ebyetaagisa okuzuzibwa